1 Kings 7:48-51

48 aAwo Sulemaani n’akozesa n’ebintu ebirala byonna ebyateekebwa mu yeekaalu ya Mukama:

ekyoto ekya zaabu;
emmeeza eya zaabu okwaberanga emigaati egy’okulaga;
49 bebikondo by’ettaala
Mu Weema ya Mukama mwalimu ekikondo ky’ettaala kimu kyokka nga kirina amatabi musanvu, (Kuv 25:31-40; 26:35). Mu kifo kyayo, Sulemaani yassaawo ebikondo kkumi eby’ettaala
ebya zaabu ennongoose, bitaano ku luuyi olwa ddyo n’ebitaano ku luuyi olwa kkono, byonna awamu kkumi, mu kifo awaayimirirwanga okwogera;
obusumbi bw’ebimuli; ettabaaza ne makansi nga bya zaabu;
50 dbbensani, ne makansi ezisala ebisirinza, ne bbakuli ezifukirira, n’ebibya ne fulampeni, nga bya zaabu ennongoose;
eminyolo gy’enzigi egy’ekisenge eky’omunda ddala, kye Kifo Ekitukuvu Ennyo nga gya zaabu, n’egy’enzigi ez’ekisenge ekinene ddala ekya yeekaalu nga gya zaabu.

51 eOmulimu gwonna Kabaka Sulemaani gwe yakola ku yeekaalu ya Mukama bwe gwaggwa, n’aleeta ebintu Dawudi kitaawe bye yayawulirako Mukama, effeeza ne zaabu n’ebintu ebirala byonna, n’abiteeka mu mawanika ga yeekaalu ya Mukama.

Copyright information for LugEEEE